Deuteronomy 29

Okuzza Obuggya Endagaano

1 aBino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.

2 bAwo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. 3 cWalaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. 4 dNaye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. 5 eBwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. 6 fTemwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.

7 gBwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. 8 hTwatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.

9 iNoolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 11 jn’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; 13 kalyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 14 lEndagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 15 msigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.

16Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. 17 nMwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. 18 oMukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.

19Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. 20 pMukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. 21Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.

22 qAbaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. 23 rEttaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. 24 sAmawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”

25Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 27 tBwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 28 uMukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

29Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

Copyright information for LugEEEE